• Today: Friday 13 Dec 2024

Oluguudo lwa Bumbobi okudda e Lwakhakha oluweza kiromita 44.5 lukuze ebinnya mu kadde katono

18 December, 2022
917

Oluguudo luno oluzingiramu disitulikiti okuli Mbale, Manafwa ne Namisindwa lwakolebwa China

State Construction Company nga yeewola obuwumbi bwa sillingi 140 okuva mu Africa Development Bank.

Ebinnya bino birabika mu Bumbobi, town council y’e Manafwa ne mu Bubutu.

John Musila omubaka wa Palamenti owa Bubulo East anenyezza kkampuni ya China State Construction Company okukola emirimu egy’ebbeeyi n’omutindo ogwa wansi ku luguudo. Musila ayagala ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) kikwate ku nsonga eno.

Allan Ssempebwa akulira ebyempuliziganya mu kitongole kya UNRA anenyezza akalippagano k’ebidduka akangi olw’ekizibu kino ng’agamba loole nnyingi ezitwala emigugu kati zisinga kwagala kukozesa luguudo lwa Bumbobi okudda e Lwakhakha nga zisala okugenda ku muliraano e’Kenya.

Comment